Deuteronomy 12:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukola mutyo kubanga temunnatuuka n'okutuusa kati mu nsi yammwe ey'ekiwummulo, obusika bwammwe, Omukama Katonda wammwe gy'agenda okubawa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga temunnatuuka mu kiwummulo ne mu busika Mukama Katonda wammwe bw’abawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga temunnatuuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa gye munaabeeranga mu mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga temunnatuuka mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa, gye munaabeerangamu nga muli mu mirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga temunnatuuka mu kuwummula ne mu busika Mukama Katonda wammwe bw'akuwa.