Deuteronomy 13:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula ottanga mutte. Mu kumutta omukono gwo gwe gumusookangako n'oluvannyuma emikono gy'abantu bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoomukubanga amayinja n’omutta, kubanga anaabanga agezezzaako okukukyusa akuggye ku Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onoomukubanga amayinja okumutta, kubanga yagezaako okukusedasenda okuva ku Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onoomukubanga mayinja n'afa, kubanga agezezzaako okukusendasenda ove ku Mukama Katonda wo, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, gye mwafugirwanga obuddu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoomukubanga amayinja afe; kubanga agezezzaako okukusendasenda okuva ku Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu.