Deuteronomy 13:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukubanga amayinja n'attibwa, kubanga yali akusendasenda kukuggya ku Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale Isirayiri yonna banaakiwuliranga banaatyanga, era tewaabeerengawo mu mmwe n’omu anaddangayo okukola ekibi ng’ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaisiraeri bonna bwe banaakiwuliranga ekyo, ne batya, era tewaabengawo mu mmwe muntu anaagezangako okukola ekibi ekifaanana bwe kityo wakati mu mmwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Abayisirayeli bonna banaawuliranga ekibaddewo ne batya, ne wataba n'omu mu mmwe addayo kukola kibi kyenkanidde awo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Isiraeri yenna anaawuliranga, ne batya, ne batakola nate bubi obwenkana awo wakati mu ggwe,