Deuteronomy 13:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Abantu empongabyoya basituse mu ggwe, ne basendasenda ab'omu kibuga kyabwe nga babagamba nti: “Tugende tuweereze balubaale,” ’ balubaale be mutamanyangako,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale nno kikusaanira obuulirizenga nnyo ku kintu ekyo, okyekebejjenga, okyekkaanyizenga ddala. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, nga wakati mu mmwe waliwo abakoze ekintu ekibi bwe kityo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
muneekennenyanga ebigambo ebyo, oba nga ddala bituufu; bwe kizuulibwanga nti bya muzizo era nga bikolebwa wakati mu mmwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
munekkaanyanga, ne munoonyereza, era ne mubuuliriza n'obwegendereza. Kale bwe kinaabanga ekituufu era ekikakafu nti eky'omuzizo ekyenkanidde awo kikoleddwa mu mmwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
onookeberanga n'onoonya n'obuuliriza; era laba, oba nga kya mazima, ekigambo ne kitegeerekeka, ng'eky'omuzizo ekyenkana awo kikolerwa wakati mu ggwe;