Deuteronomy 13:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
onoonyerezanga n'obuuliriza mu byonna; bw'ozuulanga nga kituufu, nti ekyogerwa kikakafu, ddala ekyenyinyalwa ekyo kyakolerwa mu ggwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale, abantu bonna abanaabeeranga mu kibuga onoobattanga n’ekitala, awamu n’ebisolo byabwe bye balunda byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mukwatanga ebitala ne muzikiriza buli muntu atuula mu kibuga ekyo. Musaanyizangawo ddala ekibuga, ne mutta n'ekitala buli muntu akirimu awamu n'ebisolo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
temulemanga kutta batuuze ba mu kibuga ekyo bonna n'amagana gaabwe, n'ebikirimu byonna, ne mukizikiririza ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tolemanga kutta abatuula mu kibuga omwo n’obwogi bw'ekitala, ng'okizikiririza ddala ne byonna ebikirimu n'ebisibo byakyo, n'obwogi bw'ekitala.