Deuteronomy 13:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ab'omu kibuga ekyo bonna obattanga bussi n'ekitala, n'okizikiriza, buli kirimu, abantu n'ebisolo byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omunyago gwonna onoogukuŋŋaanyizanga wakati mu kibangirizi eky’omu kibuga, era onooyokyanga ekibuga kyonna n’omunyago gwako n’omuliro, ng’ekiweebwayo ekiri awamu ekyokebwa eri Mukama Katonda wo. Ekibuga ekyo kinaasigalanga awo nga kifunvu eky’olubeerera, tekiddibwengamu kuzimbibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mukuŋŋaanyizanga wakati mu kibuga ebintu byonna eby'abantu ne mulyoka mu kyokya n'omuliro wamu n'ebintu by'abantu byonna; okuba nga ssaddaaka enjokye eri Mukama Katonda wammwe. Ekibuga ekyo kinaabeeranga matongo ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu byonna eby'abantu baamu, mubikuŋŋaanyizanga mu luguudo mu makkati g'ekibuga ekyo. Ekibuga n'ebintu byonna ebikirimu mubyokyanga, ne biba ekiweebwayo eri Mukama Katonda wammwe, ekyokebwa nga kiramba. Ekibuga ekyo kisigalanga matongo ennaku zonna ne kitaddamu kuzimbibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onookuŋŋaanyanga omunyago gwakyo gwonna wakati mu luguudo lwakyo, n'oyokya ekibuga omuliro, n'omunyago gwonna buli kantu konna, eri Mukama Katonda wo: era kinaabanga kifunvu ennaku zonna; tekirizimbibwa nate.