Deuteronomy 13:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omunyago gwamu gwonna ogukuŋŋaanyizanga wakati mu mbuga y'ekibuga, awo ekibuga n'omunyago gwamwo n'obyokera wamu byonna n'omuliro ng'ekitambiro ekyokere Omukama Katonda wo. Ekibuga kya kusigala ntuumu ya mirembe gyonna era tekiriddamu kuzimbibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewaabeerengawo kintu na kimu ku ebyo ebinaabanga bimaze okukolimirwa ky’onoosangibwanga nakyo, bwe butyo obusungu bwa Mukama obunaabanga obungi ennyo bunakkakkananga; anaakukwatirwanga ekisa, n’akulaganga okwagala kwe, n’akwongeranga okwala, nga bwe yalayirira bajjajjaabo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temweterekerangako ku kintu kyonna ekikolimiddwa, Mukama alyoke akyuke okuleka obusungu bwe obungi, abalage ekisa, abasaasire era abaaze, nga bwe yalayirira bajjajjammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temwesigalizengawo kintu na kimu ku bikolimiddwa, olwo Mukama alyoke akomye obusungu bwe obungi. Alibakwatirwa ekisa, n'abasaasira n'abafuula bangi nga bwe yalayirira bajjajjammwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tewabanga ku kintu ekyakolimirwa ekineegattanga n'omukono gwo: Mukama akyuke okuleka obusungu bwe obukambwe, akulage ekisa, akusaasire, era akwaze, nga bwe yalayirira bajjajja bo;