Deuteronomy 13:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewabanga ku kintu na kimu ku ebyo ebisaliddwa okuzikirizibwa kisangibwanga naawe, Omukama alyoke aleke obusungu bwe obwesera, akusaasire, akuwe okwala nga bwe yalayirira bajjajjaabo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga onoogonderanga eddoboozi lya Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, n’okolanga ebisaanidde mu maaso ga Mukama Katonda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulirenga eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe, mwekuumanga ebiragiro bye byonna bye mbalagira leero, okukolanga ebiri mu maaso ga Mukama Katonda wammwe ebirungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kasita munaamuwuliranga, ne mukuuma ebiragiro bye byonna bye mbawa olwaleero, ne mukolanga ebyo Mukama Katonda wammwe by'alaba nti bye bituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okwekuumanga ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, okukolanga ekiri mu manso ga Mukama Katonda wo ekirungi.