Deuteronomy 13:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu mmwe bwe musitukangamu omulanzi, oba omuloosi w'ebirooto n'akola akabonero oba ekyewuunyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo by’anaabanga alangiridde ne bituukirira, n’alyoka akugamba nti, “Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga” (bakatonda ggwe b’otomanyangako),
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
akabonero ako oba eky'amagero ekyo ne bwe kituukiriranga, kyokka n'abagamba okuweereza bakatonda abalala bemutamanyangako era be mutaweerezangako,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ekyewuunyo ekyo oba ekyamagero ekyo ne bwe kituukiriranga, kyokka n'abagamba nti: ‘Tusinzenga balubaale, be mutasinzangako, era tubaweerezenga’,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
akabonero ako oba eky'amagero ekyo ne kituukirira, kye yakugambako ng'ayogera nti Tugobererenga bakatonda abalala b'otomanyanga, era tubaweerezenga;