Deuteronomy 13:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
towulirizanga bigambo bya mulanzi oyo oba omuloosi, kubanga Omukama Katonda wammwe abeera abageza bugeza, alabe oba mumwagala n'omutima gwammwe gwonna n'omwoyo gwammwe gwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munaatambulanga okugoberera Mukama Katonda wammwe ne mwekuumanga ebiragiro bye ne muwuliranga eddoboozi lye, era munaamuweerezanga, ne mwegattanga naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugobererenga Mukama Katonda wammwe, era gwe muba mussangamu ekitiibwa. Mumuwulirenga era mukuumenga ebiragiro bye. Mumusinzenga era mumunywererengako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munaatambulanga okugoberera Mukama Katonda wammwe ne mwekuumanga ebiragiro bye ne muwuliranga eddoboozi lye, era munaamuweerezaaga, ne mwegattanga naye.