Deuteronomy 13:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wammwe yekka gwe mubanga mugoberera, gwe mubanga mutya. Mukwatenga ebiragiro bye, muwulirizenga eddoboozi lye; oyo gwe mubanga muweereza, gwe mubanga munywererako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo anattibwanga, kubanga anaabanga abasasamaza mujeemere Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, n’abanunula mu nnyumba ey’obuddu, nnabbi oyo ng’akusasamaza, ove mu kkubo ettuufu Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw’otyo ekibi ekiri mu mmwe, bw’onookimalangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nnabbi oyo oba omuntu oyo aloota ebirooto anattibwanga; kubanga ayogedde ebigambo ebibajeemesa okuva ku Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, n'abanunula mu nnyumba ey'obuddu, nga abasendasenda okukyama okuva mu kkubo Mukama Katonda wammwe lye yabalagira okutambulirangamu. Kale mwe mutyo bwe munaggyangamu okwonoona wakati mu mmwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omulanzi oyo, oba omuvvuunuzi w'ebirooto oyo, attibwanga, kubanga abagamba okujeemera Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, gye mwafugirwanga obuddu. Omuntu ng'oyo aba abawabya okubaggya mu mpisa, Mukama Katonda wammwe ze yabalagira okukwatanga, kyanaavanga attibwa ne mweggyako ekibi ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nabbi oyo oba omuloosi w'ebirooto anattibwanga; kubanga ayogedde eby'okujeemera Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, n'akununula mu nnyumba y'obuddu, okukusendasenda okukyama okuva mu kkubo Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw'otyo bw'onoggyangamu obubi wakati mu ggwe.