Deuteronomy 13:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulanzi oli, oba oyo omuloosi w'ebirooto, attibwanga, kubanga ayogera ebyo mujeemere Omukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, n'akununula mu nnyumba y'obuddu; akusendasenda kukuggya mu kkubo Omukama Katonda wo lye yakulagira. Ekibi kino mukiggyirangawo ddala mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna, ne bw’abanga muganda wo oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukazi wo omuganzi ennyo, oba mukwano gwo gw’oyagala ennyo ow’okulusegere, n’akusendasendanga mu kyama ng’agamba nti, “Jjangu tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda ggwe b’otomanyangako, ne bakadde bo be batamanyangako,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Muganda wo, mutabani wa nnyoko, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba omukazi wo, oba mukwano gwo ennyo, bw'akusendasendanga mu kyama, ng'ayogera nti, ‘tugende tuweereze bakatonda abalala b'otomanyanga ggwe, newakubadde bajjajjaabo,’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ne muganda wo bwe muzaalibwa nnyammwe omu, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukyala wo gw'oyagala ennyo, oba mukwano gwo ennyo ayinza okukusendasenda mu kyama ng'agamba nti: ‘Tugende tusinze balubaale, ggwe ne bajjajjaabo be mutasinzangako.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muganda wo, mutabani wa nnyoko, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba omukazi ow'omu kifuba kyo, oba mukwano gwo, aliŋŋanga obulamu bwo ggwe, bw'akusendasendanga ekyama, ng'ayogera nti Tugende tuweereze bakatonda abalala, b'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo;