Deuteronomy 13:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Singa muganda wo, oba omwana wo, oba muwala wo, oba mukazi wo ow'omu mikono gyo, oba mukwano gwo bwe muli ekimu, akusendasenda mu nkiso nti: ‘Tugende tuweereze balubaale,’ balubaale b'otaamanya ggwe ne kitaawo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bakatonda ab’abantu ababeetoolodde, ab’oku muliraano, oba abeewala, okuva ensi gy’etandikira ne gy’ekoma,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ku bakatonda ab'amawanga agabeetoolodde, abali okumpi nammwe, oba abali ewala mu nsi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku abo ayinza okukusendasenda okusinzanga balubaale b'amawanga agabeetoolodde, agali awo okumpi n'agali ewala, ku njuyi zonna ez'ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ku bakatonda ab'amawanga ababeetoolodde, abali okumpi naawe, oba abakuli ewala okuva ku nkomerero y'ensi okutuuka ku nkomerero y'ensi: