Deuteronomy 13:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
balubaale ab'amawanga agakwetoolodde, ag'okumpi n'ag'ewala, okuva ku nsonda emu ey'ensi okutuuka ku ndala,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tomuwulirizanga, so by’anaakugambanga tobikolanga. Tomusaasiranga era tomuzibiikirizanga wadde okumusonyiwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
tomukkirizanga so tomuwuliranga; tomukwatirwanga kisa, tomusonyiwanga, so tomukwekanga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tokkirizenga by'akugamba, era toomuwulirizenga. Tomutunuulizanga kisa wadde okumusaasira, era toomuzibirenga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tomukkirizanga so tomuwuliranga; so n'eriiso lyo terimusaasiranga, so tosonyiwanga, so tomukwekanga: