Deuteronomy 14:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muli baana ba Mukama Katonda wammwe. Nga mukungubagira afudde temwesalaasalanga na kwemwa mu bwetikkiro,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muli baana ba Mukama Katonda wammwe. Temwesalangako misale oba enjola ku mibiri gyammwe, wadde okwemwangako enviiri ez’omu bwenyi nga mufiiriddwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe muli baana ba Mukama Katonda wammwe; temwesalanga misale so temumwanga mitwe gyammwe okufaanana nga ab'ebiwalaata nga mukungubagira abafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe muli bantu ba Mukama Katonda wammwe. Bwe mubanga mukungubagira abafu, temwesalengako misale era temuumwenga ku mitwe gyamwe mu ngeri ebafaananya ng'ab'ebiwalaata, ng'abantu abalala bwe bakola,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe muli baana ba Mukama Katonda wammwe: temwesalanga, so temumwanga kiwalaata kyonna wakati w'amaaso gammwe olw'abafu.