Deuteronomy 14:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga muli bantu batukuvu ab'Omukama Katonda wo. Omukama yakulonda mu mawanga gonna agali ku nsi obeere ggwanga lye, ekkula lye”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo. Mu mawanga gonna ag’oku nsi, Mukama ggwe gwe yalondamu okuba eggwanga lye eddonde lye yeefunira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga muli ggwanga ttukuvu erya Mukama Katonda wammwe, era Mukama yabalonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga gonna agali mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mmwe muli ggwanga lya Mukama Katonda wammwe. Yabalondamu okuba eggwanga lye eryenjawulo mu mawanga amalala gonna agali ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo, era Mukama yakulonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga gonna agali ku maaso g'ensi.