Deuteronomy 14:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Temulyanga nnyama ya kalannamye. Oyinza okugiwa omugwira ali eyo mu bibuga byammwe, oba okugimuguza. Naye mmwe muli bantu ba Mukama Katonda wo abatukuvu. Tofumbanga kabuzi mu mata ga nnyina waako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekintu kyonna kye munaasanganga nga kimaze okufa, temukiryanga. Onooyinzanga okukiwanga munnaggwanga anaabeeranga mu bibuga byo ye n’akirya, oba onooyinzanga okukitunzanga munnaggwanga. Kubanga oli ggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo. Tofumbiranga kabuzi kato mu mata ga nnyina waako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temulyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka; muyinza okukiwa bannamawanga abali mu bibuga byammwe bakirye oba okukibaguza; kubanga mmwe muli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wammwe. Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina gwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Temuulyenga ku kintu na kimu ekifudde ku bwakyo. Munaayinzanga okukiwa abagwira ababeera mu nsi yammwe ne bakirya, oba munaayinzanga okukiguza abagwira abalala. Naye mmwe muli ggwanga, Mukama Katonda wammwe lye yafuula erirye. Temuufumbirenga mwana gwa nsolo mu mata ga nnyina waagwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temulyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka: oyinza okukiwa munnaggwanga ali munda w'enzigi zo akirye; oba oyinza okukiguza munnaggwanga: kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo. Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina wagwo.