Deuteronomy 14:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku ebyo ensigo bye zaabaza ebiva mu nnimiro yo oggyangako ekyekkumi buli mwaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lw’onookungulanga ebibala byo nga biva mu nnimiro yo buli mwaka, weegenderezanga n’ossangako wabbali ekitundu kyabyo eky’ekkumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muneesoloozangako ekitundu ekimu eky'ekkumi ku bibala ebinaavanga mu nnimiro zammwe buli mwaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muneesoloozangako ekitundu kimu eky'ekkumi ku bibala bye mukungula mu nnimiro zammwe buli mwaka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tolemanga kusolooza kitundu kya kkumi ku bibala byonna eby'ensigo zo ebinaavanga mu nnimiro buli mwaka.