Deuteronomy 14:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyekkumi eky'eŋŋano, evviini ensu n'omuzigo, n'ebiggulanda by'omu ggana lyo ne mu kisibo kyo, obiriiranga mu maaso g'Omukama Katonda wo, mu kifo ky'aliba alonze okussaamu erinnya lye; olyoke oyige okutya Omukama Katonda wo obudde bwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoolyanga ekitundu eky’ekkumi eky’emmere y’empeke, n’ekya wayini omusu, n’eky’amafuta, n’eky’ebibereberye eby’ebisibo byo n’eby’amagana go. Onookiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye, olyokenga oyige okutyanga Mukama Katonda wo bulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onooliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yo, n'eky'envinnyo yo, n'eky'amafuta go, n'ebibereberye by'ente zo n'eby'embuzi zo; oyige okutyanga Mukama Katonda wo ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era munaagendanga mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, ne muliira eyo mu maaso ge, ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yammwe, n'eky'omwenge gwammwe ogw'emizabbibu, n'eky'omuzigo gwammwe ogw'emizayiti, n'ente, endiga n'embuzi zammwe ezisooka okuzaalibwa, bwe mutyo muyige okussangamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onooliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yo, n'eky'envinnyo yo, n’eky'amafuta go, n'ebibereberye by'ente zo n'eby'embuzi zo; oyige okutyanga Mukama Katonda wo ennaku zonna.