Deuteronomy 14:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze okussaamu erinnya lye, bwe kiriba nga kikuli wala, ate nga ggwe Omukama akuwadde omukisa, naye nga tosobola kubitwalayo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama ng’akuwadde omukisa, kyokka ng’ekifo ekyo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye kiri wala n’ewuwo, noolwekyo nga toosobolenga kwetikka ekitundu eky’ekkumi okukituusangayo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oba ng'olugendo lunaakuyiŋŋanga okuba olunene, n'okuyinza n'otoyinza kukitwalayo, kubanga ekifo kiyinze okukuba ewala, Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye, Mukama Katonda wo bw'alikuwa omukisa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye olugendo bwe lunaabayitirirangako obuwanvu, ng'ekifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu kiri wala, ne mutasobola kutwalayo kitundu ekimu eky'ekkumi eky'ebyo Mukama Katonda wammwe ky'abawaddemu omukisa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba ng'olugendo lunaakuyinganga okuba olunene, n'okuyinza n'otoyinza kukitwalayo, kubanga ekifo kiyinze okukuba ewala, Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye, Mukama Katonda wo bw'alikuwa omukisa;