Deuteronomy 14:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
byonna obitundanga n'oggyamu ssente; ssente ozisibangako mu ngalo zo n'ozitwala mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale nno, onookiwaanyisangamu omuwendo gw’ensimbi. Onoogendanga n’ensimbi ezo ng’ozinywezezza mu mukono gwo mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
onookiwaanyisangamu effeeza, n'osiba effeeza mu mukono gwo, n'ogenda mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
munaakitundanga ne mufunamu ensimbi, ne mutwala ezo, mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
onookiwaanyisangamu effeeza, n'osiba effeeza mu mukono gwo, n'ogenda mu kifo Mukama Kafonda wo ky'alyeroboza: