Deuteronomy 14:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ozigulamu buli kyonna ky'oliba oyagadde, ng'ente, endiga, evviini, omwenge, leero kyonna omutima gwo kye guliba gusiimye. Ekyo ggwe n'ab'omu nnyumba yo mulikiriira eyo mu maaso g'Omukama Katonda wo, ne musanyuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensimbi ezo onoozeegulirangamu ekintu kyonna ky’onooyagalanga: gamba ente, oba endiga, oba envinnyo, oba ekyokunywa ekitamiiza, oba ekintu kyonna ky’onooyagalanga. Ggwe awamu n’ab’omu maka go bonna munaaliiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wo nga musanyuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale effeeza onoogigulangamu ekintu kyonna emmeeme yo ky'eyagala, ente, oba ndiga, oba nvinnyo, oba ekitamiiza, oba ekintu kyonna emmeeme yo ky'eneekusabanga: era onooliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo, era onoosanyukanga ggwe n'ab'omu nnyumba yo:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensimbi ezo munaazigulangamu kye munaabanga mwagadde: ente, oba endiga, oba omwenge ogw'emizabbibu, oba omwenge omuka, oba ekintu ekirala kyonna kye munaabanga mwegombye okulya. Ne muliira eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, ne musanyukira wamu n'ab'omu maka gammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)