Deuteronomy 14:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu mwaka ogwokusatu, ku byonna by'obanga obazizza mu mwaka ogwo, oggyangako ekyekkumi, n'okitereka mu bibuga byo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli myaka esatu, ku buli nkomerero ya mwaka ogwokusatu, onooleetanga ebitundu eby’ekkumi byonna ebyo eby’ebibala byo byonna eby’omwaka ogwo, n’obiterekanga mu mawanika mu bibuga byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku buli nkomerero y'omwaka ogwokusatu munaakuŋŋaanyanga ebitundu byonna eby'ekkumi ne mubitereka mu bibuga byammwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku buli nkomerero y'omwaka ogwokusatu, munaaleetanga ekitundu kimu eky'ekkumi kyonna eky'ebirime bye mukungudde omwaka ogwo, ne mukitereka mu bibuga byammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli myaka esatu bwe giggwangako, onoofulumyanga ekitundu kyonna eky'ekkumi eky'ebibala byo mu mwaka ogwo, n'okiterekanga munda w'enzigi zo: