Deuteronomy 14:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bw'atyo Omuleevi atalina mugabo oba busika mu mmwe, n'omugwira, n'enfuuzi, ne nnamwandu, abali mu bibuga byo, nabo balye bakkute, Omukama Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu mirimu gyonna egy'emikono gyo gy'okola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno, Omuleevi kubanga taabenga na mugabo wadde ebyobusika nga ggwe, ne bamulekwa abatalina bakitaabwe ne nnamwandu; abo bonna abanaabanga babeera mu bibuga byo, bajjenga balye okutuusa lwe banakkutanga; bw’atyo Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu buli kimu kyonna ky’onookolanga n’emikono gyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'Omuleevi, kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu nammwe, ne munnaggwanga ne mulekwa, ne nnamwandu abali munda mu bibuga byammwe, banajjanga ne balya ne bakkuta; Mukama Katonda wammwe alyoke abawe omukisa mu mirimu gyonna gye mukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Abaleevi abatalina mugabo gwa ttaka lya nsikirano nga mmwe gwe mulina, n'abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu abali mu bibuga byammwe, banajjanga ne bafuna ku mmere eyo, ne balya ne bakkuta, Mukama Katonda wammwe alyoke abawenga mmwe omukisa mu byonna bye munaakolanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'Omuleevi, kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu naawe, ne munnaggwanga, ne mulekwa, ne namwandu abali munda w'enzigi zo, banajjanga ne balya ne bakkuta; Mukama Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu mulimu gwonna ogw'omukono gwo gw'okola.