Deuteronomy 14:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye zino temuziryanga okuva mw'ezo ezimenyerwa mu zizza obwenkulumu oba mu zaawula ekiganja, ez'ekinuulo ekiryebulemu: eŋŋamiya, akamyu n'omusu, kubanga zizza obwenkulumu naye tezaawula kiganja; ezo si nnongoofu gye muli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nno ku ezo ezirina ebinuulo ebyawulamu oba nga zizza obwenkulumu, zino temuziryanga: eŋŋamira, akamyu, n’omusu. Kubanga newaakubadde nga zizza obwenkulumu, ekinuulo kyazo sikyawulemu, si nnongoofu za muzizo gye muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku ezo ezizza obwenkulumo, oba ezirina ekinuulo ekyaseemu, zino ze mutalyanga: eŋŋamira, akamyu n'omusu, kubanga zizza obwenkulumu naye tezaawulamu kinuulo; si nnongoofu gye muli;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mu ezo ezizza obwenkulumu oba ezirina ebinuulo ebyaseemu, zino ze mutaalyenga: eŋŋamiya, akamyu, n'omusu. Ezo munaazibaliranga mu zitali nnongoofu, kubanga wadde zizza obwenkulumu, naye tezirina binuulo byaseemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye zino ze mutalyangako ku ezo ezizza obwenkulumo, oba ku ezo ezirina ekinuulo ekyaseemu: eŋŋamira n'akamyu n'omusu, kubanga bizza obwenkulumo, naye tebyawulamu kinuulo, ebyo si birongoofu gye muli: