Deuteronomy 14:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Embizzi nayo si nnongoofu, kubanga eyawula ekiganja naye tezza bwenkulumu. Temulyanga nnyama yaabyo wadde okukwata ku kalannamye waabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Embizzi nazo si nnongoofu, kubanga newaakubadde zirina ekinuulo ekyawulemu, naye tezizza bwenkulumu, noolwekyo zinaabanga za muzizo gye muli. Ennyama yaazo temugiryanga so temukwatanga wadde okukoma ku mirambo gyazo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'embizzi, kubanga eyawulamu ekinuulo naye tezza bwekulumo, nayo si nnongoofu gye muli. Ennyama y'ensolo ezo temugiryangako, wadde okuzikwatako nga zifudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era temuulyenga mbizzi. Nayo munaagibaliranga mu nsolo ezitali nnongoofu, kubanga wadde erina ebinuulo ebyaseemu, naye tezza bwenkulumu. Temuulyenga ku nnyama ya nsolo ezo, wadde okuzikoonako nga zifudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'embizzi, kubanga eyawulamu ekinuulo naye tezza bwekulumo, eyo si nnongoofu gye muli: ku nnyama yaabyo temugiryangako, n'emirambo gyabyo temugikomangako.