Deuteronomy 15:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweesanga kisa, sso si n'omutima ogutaagaane; olw'okubeera ekyo Omukama Katonda wo alikuwa omukisa na byonna emikono gyo bye gikola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwenga n’okwagala n’obutajuliriranga, kubanga olw’omwoyo ng’ogwo, Mukama Katonda wo ajjanga kukuwanga omukisa mu mirimu gyo gyonna, ne mu buli kintu ky’onootuusangako engalo zo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tolemanga kumuwa, so omutima gwo tegunakuwalanga ng'omuwadde, bw'onookolanga bw'otyo, Mukama Katonda anaakuwanga omukisa mu mirimu gyonna gy'okola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temulemanga kumuweesa kwagala, nga n'omutima gwammwe teguliimu kwennyamira. Olwo Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu byonna bye munaakolanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tolemanga kumuwa, so n'omutima gwo tegunakuwalanga bw'omuwa: kubanga olw'ekigambo ekyo Mukama Katonda wo kyanaavanga akuwa omukisa mu mulimu gwo gwonna ne mu byonna by'onossangako omukono gwo.