Deuteronomy 15:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nsi abaavu bulijjo balibeeramu; kale nno kyenva nkulagira obeere mugabi eri muganda wo, eri omwavu, n'eri ali mu bwetaavu ali mu nsi yo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwokubanga mu nsi temuubulengamu baavu abali mu kwetaaga, kyenva nkulagira nti muganda wo omwavu era ali mu kwetaaga omwanjululizanga engalo zo bulijjo mu nsi yo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna; kyenva nkulagira nti tolemanga kuyamba muganda wo ali mu bwetaavu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna. Kyenva mbalagira mmwe nti temulemanga kuyamba baganda bammwe abali mu bwetaavu, era abaavu mu nsi yammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna: kyenva nkulagira nga njogera nti Tolemanga kwanjuluza ngalo zo eri muganda wo, eri ababo abeetaaga, era eri abaavu bo, mu nsi yo.