Deuteronomy 15:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omwebureeyi munno, omusajja oba omukazi, bwe bamukuguzanga, n'amala emyaka mukaaga ng'akuweereza, mu mwaka ogwomusanvu, omutanga n'akuleka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja Omwebbulaniya oba omukazi Omwebbulaniya gw’onoobanga oguze okukuweerezanga, bw’anaamalangako emyaka omukaaga, mu mwaka ogw’omusanvu onoomuddizanga eddembe lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bwe bakuguzanga omwebbulaniya munno, omusajja oba omukazi, n'akuweereza okumala emyaka omukaaga, omwaka ogw'omusanvu omuteeranga ddala n'agenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe bakuguzanga Omwebureeyi munno, omusajja oba omukazi, n'akuweereza okumala emyaka mukaaga, mu mwaka ogw'omusanvu omuteeranga ddala n'agenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe bakuguzanga muganda wo, omusajja Omwebbulaniya oba mukazi Omwebbulaniya, n'amala emyaka mukaaga ng'akuweereza; mu mwaka ogw'omusanvu n'olyoka omuteeranga ddala okukuvaako.