Deuteronomy 15:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omuwangayo okuva mu magana go, mu gguuliro lyo ne ku ssogolero lyo, Omukama Katonda wo nga naawe bw'aliba akuwadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwangako, nga teweebalira, ku magana go, ne ku mmere yo ey’empeke, ne ku wayini wo. Omuwanga nga Mukama Katonda wo bw’anaabanga akuwadde omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onoomuwanga ku mbuzi zo, ne ku mmere yo ey'empeke ne ku by'omussogolero lyo, nga Mukama bweyakuwa omukisa bw'otyo bw'onoomuwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwanga n'omutima omugabi, ng'otoola ku ndiga n'embuzi, ku mmere ey'empeke ne ku mwenge ogw'emizabbibu, okusinziira ku ebyo Mukama Katonda wo bye yakuweeramu omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
onoomulabiranga ebingi ku mbuzi zo ne ku gguuliro lyo ne ku ssogolero lyo: nga Mukama Katonda wo bwe yakuwa omukisa, bw'onoomuwanga bw'otyo.