Deuteronomy 15:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'agamba nti: ‘Saagala kukuleka,’ kubanga ggwe n'amaka go abaagala, nga mumativu okubeera ewuwo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omuddu bw’anaakugambanga nti, “Sijja kuva wano,” kubanga akwagala nnyo ggwe n’abali mu maka go, era nga bw’abeera naawe aba bulungi;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omuddu wo bw'anaayagalanga okusigala naawe, kubanga akwagala ggwe n'ab'omu maka go, era nga mu mativu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye omuddu wo ayinza obutayagala kukuvaako, kubanga akwagala ggwe n'ab'omu maka go, era nga mumativu okusigala naawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaatuukanga bw'anaakugambanga nti Sijja kufuluma kukuleka; kubanga akwagala ggwe n'ab'omu nnyumba yo, kubanga alaba ebirungi ewuwo;