Deuteronomy 15:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oddiranga olukato, n'olumuyisa mu kutu kwe ne luyingira mu luggi; olwo nga wa kubeera muweereza wo ebbanga lyonna. N'omuzaana bw'omukolanga bw'otyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale nno, onoomulazanga awali oluggi, n’oddira olukato n’olufumitanga mu kutu kwe okw’ebweru ne luyingira ne mu luggi; olwo anaabanga afuuse muweereza wo ennaku zonna ez’obulamu bwe bwonna. N’omuweereza wo omukazi naye onoomuyisanga bw’otyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
olwo n'olyoka oddira olukato n'omuwummula okutu kwe nga ali ku luggi, n'abeerera ddala muddu wo ennaku zonna. N'omuzaana wo bw'onoomukolanga bw'otyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo onookwatanga olukato, n'omuwummula okutu kwe ng'ali ku luggi, n'abeerera ddala muddu wo ennaku zonna. N'omuzaana wo bw'onoomuyisanga bw'otyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'olyoka oddiranga olukato, n'oluyisa mu kutu kwe n'okwasa n'oluggi, naye anaabeeranga muddu wo ennaku zonna. Era n'omuzaana wo bw'onoomukolanga bw'otyo.