Deuteronomy 15:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tokaluubirirwanga kumusiibula, kubanga singa ebadde mpeera ya kuwa mupakasi, eyiye olw'emyaka omukaaga gy'amaze ng'akuweereza, yandikubisizzaamu emirundi ebiri. Omukama Katonda wo agenda kukuwa omukisa mu mirimu gyo gyonna gy'okola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tolowoozanga nti omukwatiddwa ekisa kubanga akuweerezza okumala emyaka mukaaga, nga buli mulimu gw’akola gwandikoleddwanga abaweereza ab’empeera babiri balamba. Era mu byonna by’onookolanga, Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tokalubirirwanga kumusonyiyiranga ddala n'agenda, kubanga yakuweereza emyaka mukaaga emirundi ebiri, okusinga oyo aweererezza empeera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Leka kulowooza nti kizibu okumuteera ddala n'akuvaako, kubanga anaabanga akukoledde emyaka mukaaga, emirimu gya mirundi ebiri egy'omukozi akolera empeera. Bw'onookolanga bw'otyo, Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu byonna by'onookolanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tolowoozanga nga kizibu bw'onoomuteeranga ddala okukuvaako; kubanga yakuweerereza emyaka mukaaga okusinga emirundi ebiri oyo aweerereza empeera: era Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu byonna by'okola.