Deuteronomy 15:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Buli kiggulanda kyonna ekizaalibwa mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, kasita kiba kirume, okisingiranga Omukama Katonda wo. Ente esooka okuzaalibwa togikozesanga mirimu, n'endiga esooka okuzaalibwa togimwangako byoya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli bibereberye ebisajja ebinaazaalibwanga mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, onoobitukuzanga era binaabanga bya Mukama Katonda wo. Ente zo ennume embereberye tozikozesanga mirimu, n’endiga zo embereberye tozisalangako byoya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ensolo zammwe ensajja ezisooka okuzaalibwa, ente, embuzi oba endiga, munaazaawulangamu nga za Mukama, temuzikozesanga mulimu gwonna, era n'embuzi oba endiga temuzisalangako byoya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ente zammwe, embuzi n'endiga zammwe ezisooka okuzaalibwa, munaazaawuliranga Mukama Katonda wammwe. Ente ezo ezisooka okuzaalibwa temuuzikozesenga mirimu, era embuzi n'endiga ezo ezisooka okuzaalibwa, temuuzisalengako byoya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibereberye byonna ebisajja ente zo n'embuzi zo bye zinaazaalanga onootukuzanga eri Mukama Katonda wo: tokozanga mulimu gwonna kibereberye kya nte yo, so tosalanga byoya bya kibereberye kya mbuzi zo.