Deuteronomy 15:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli mwaka, ggwe ng'oli n'ab'omu maka go, ogiriiranga mu maaso g'Omukama, mu kifo Omukama ky'aliba alonze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibereberye ebyo onoobiryanga buli mwaka, buli mwaka, ggwe n’ab’omu nju yo bonna, nga mubiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli mwaka, mmwe n'ab'omu maka gammwe munaaziriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mu kifo Mukama ky'alyeroboza okumusinzizangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli mwaka mmwe n'ab'omu maka gammwe, munaaziriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mu kifo ekyo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onookiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo buli mwaka mu kifo Mukama ky'alyeroboza, ggwe n'ab'omu nnyumba yo.