Deuteronomy 15:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ekisolo bwe kibeerangako akamogo oba nga kirema, oba nga tekiraba, oba nga kiriko enkeka ey'amaanyi, tokitambiriranga Mukama Katonda wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisolo bwe kinaabeerangako akamogo, gamba nga kirema, oba nga kizibe kya maaso, oba nga kiriko ekikyamu kyonna ekinene, tokireetanga ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'eneebangako obulema bwonna obutali bulungi, nga ziwenyera oba nzibe z'amaaso, oba obulema obulala bwonna, temuziwangayo eri Mukama Katonda wammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ezinaabeerangako akamogo, nga nnema oba nga zizibye amaaso, oba nga ziriko ekikyamu ekirala kyonna, temuuziwengayo eri Mukama Katonda wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe kinaabangako obulema bwonna, bwe kinaawenyeranga oba bwe kinaabanga ekizibe ky'amaaso, obulema bwonna bwonna obutali bulungi; tokiwangayo eri Mukama Katonda wo.