Deuteronomy 15:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okiriiranga eyo mu bibuga byo. Abalongoofu n'abatali balongoofu bayinza okukiryako, nga bwe mwandiridde ennangaazi oba engabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onookiriiranga mu bibuga byo. Omulongoofu n’atali mulongoofu mwenna munaabiryanga nga bwe munaalyanga empeewo oba enjaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ezo onooziriiranga munda w'ebibuga byo era abalongoofu n'abatali balongoofu banaaziryangako kyenkanyi nga bwe balya empeewo n'enjaza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaaziriiranga mu bibuga byammwe. Abalongoofu n'abatali balongoofu banaayinzanga okuziryako, nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onookiriiranga munda w'enzigi zo: abatali balongoofu n'abalongoofu banaakiryanga okwenkanankana, ng'empeewo era ng'enjaza.