Deuteronomy 15:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugwira ye okyayinzanga okumubanja, naye ebbanja ly'obanja munnansi munno olisonyiwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onooyinzanga okubanja munnaggwanga akusasule, naye ebbanja muganda wo ly’akulinako onoolimusonyiwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
wabula munnaggwanga oyinza okumubanja; naye ekintu kyonna ky'obanja muganda wo on'okimusonyiwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abagwira munaayinzanga okubabanja, naye buli kintu kyammwe ekiri mu baganda bammwe, munaakibalekeranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munnaggwanga oyinza okukimubanja: naye ekintu kyonna ku bibyo ekiri ne muganda wo omukono gwo gunaakisumululanga.