Deuteronomy 15:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mmwe temubangamu adooba, kubanga Omukama Katonda wo alikuwa omukisa mungi mu nsi gy'alikuwa ogitwale ng'obusika bwo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tewaabeerengawo mwavu mu mmwe kubanga ng’otuuse mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugyefunira ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira n’akuyiwangako emikisa gye emingi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okubanga Mukama anaabawanga omukisa mu nsi gy'abawa okuba obutaka bwammwe, tewaabenga mwavu mu mmwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tewaabenga mwavu mu mmwe, kubanga Mukama Katonda wammwe taalemenga kubawa mukisa mu nsi gy'abawa okwefuga, ebe obutaka bwammwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye tewaabenga baavu gy'oli, (kubanga Mukama taalemenga kukuwa mukisa mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika okugirya;)