Deuteronomy 15:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama Katonda wo agenda kukuwa omukisa, nga bwe yasuubiza. Oliwola amawanga mangi, ate nga ggwe tewali gwe weewozeeko; olifuga amawanga mangi, ate ggwe nga tewali akufuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama Katonda wo agenda kukuyiwako emikisa gye nga bwe yakusuubiza. Amawanga mangi onoogawolanga naye ggwe tojjanga kugeewolako. Onoofuganga amawanga mangi, naye go tegaakufugenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa, nga bwe yakusuubiza; onoowolanga amawanga mangi, naye ggwe teweewolenga; era onoofuganga amawanga mangi, naye tebaakufugenga ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa nga bwe yabasuubiza. Munaawolanga amawanga mangi, naye mmwe, temwewolenga. Munaafuganga amawanga mangi, naye mmwe, tegaabafugenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa, nga bwe yakusuubiza: era onoowolanga amawanga mangi, naye teweewolenga; era onoofuganga amawanga mangi, naye tebaakufugenga ggwe.