Deuteronomy 15:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe wabangawo omwavu mu baganda bo mu kimu ku bibuga byo ebiri mu nsi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa, bw'awammanga, tomukaluubiriranga, tokodowaliranga muganda wo mwavu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’onoobanga oli mu bibuga by’omu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, mu mmwe bwe munaabangamu munno omwavu ali mu kwetaaga tokakanyazanga mutima gwo wadde okukodowaliranga muganda wo oyo omwavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mu mmwe bwe munaabangamu omwavu mu kimu ku bibuga byammwe, mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, temuukakanyazanga mitima gyammwe, ne mugaana okuyamba muganda wammwe oyo omwavu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu mmwe bwe munaabangamu omwavu mu kimu ku bibuga byammwe mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, temuukakanyazenga mitima gyamwe, ne mugaana okuyamba muganda wammwe oyo omwavu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe wanaabanga gy'oli omwavu, omu ku baganda bo, munda w'oluggi lwonna ku nzigi zo mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, tokakanyazanga mutima gwo, so tofunyanga ngalo zo eri muganda wo omwavu: