Deuteronomy 16:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Okuzanga omwezi gwa Abibu, n'okuza Pasika y'Omukama Katonda wo, kubanga mu mwezi gwa Abibu Omukama Katonda wo lwe yakuggya mu Misiri ekiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ojjukiranga omwezi ogwa Abibu ng’ogukwatiramu Okuyitako kwa Mukama Katonda wo, kubanga ekiro mu mwezi gwa Abibu, Mukama Katonda wo mwe yakuggyira mu nsi y’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwekuumanga omwezi gwa Abibu, ne mukwata Okuyitako eri Mukama Katonda wammwe, kubanga mu mwezi ogwo Mukama Katonda wammwe mweyabaggyira mu Misiri ekiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukuumanga omwezi gwa Abibu ne mukola Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, kubanga mu mwezi ogwo, Mukama Katonda wammwe mwe yabaggyira mu Misiri ekiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okwatanga omwezi Abibu, weekuumenga Okuyitako eri Mukama Katonda wo: kubanga mu mwezi Abibu Mukama Katonda wo mwe yakuggira mu Misiri ekiro.