Deuteronomy 16:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'okuza embaga ya Wiiki olw'Omukama Katonda wo, ng'oweereza ekitambiro ekyeyagalire ng'ogerera ku Mukama Katonda wo nga bw'aliba akuwadde omukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno onookwatanga Embaga ya Wiiki ezo ng’oleetera Mukama Katonda wo ekiweebwayo ekya kyeyagalire ekinaavanga mu ngalo zo, ng’emikisa bwe ginaabeeranga Mukama Katonda wo gy’anaabanga akuwadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne mulyoka mukola Embaga eyitibwa eya Ssabbiiti Omusanvu, okussaamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, nga mumuleetera ekiweebwayo kye mwesiimidde okusinziira ku mikisa Mukama Katonda wammwe gy'abawadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne mulyoka mukola Embaga eyitibwa eya Wiiki Omusanvu, okussaamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, nga mumuleetera ekiweebwayo kye mwesiimidde okusinziira ku mikisa Mukama Katonda wammwe gy'abawadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oneekuumanga embaga eya ssabbiiti eri Mukama Katonda wo ng'omuwa omusolo ogw'ekyo ky'owaayo ku bubwo eky'omukono gwo, ky'onowangayo nga Mukama Katonda wo bw'akuwa omukisa: