Deuteronomy 16:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Osanyukiranga mu maaso g'Omukama Katonda wo, ggwe, mutabani wo, muwala wo, omuddu wo, omuzaana wo, n'Omuleevi ali mu bibuga byo, omugwira, enfuuzi, ne nnamwandu abali ewuwo, mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze ng'ekisulo ky'erinnya lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde okubeerangamu Erinnya lye. Onoosanyukanga ne batabani bo, ne bawala bo, n’abaweereza bo abasajja, n’abaweereza bo abakazi, n’Omuleevi anaabeeranga mu bibuga byo, ne munnaggwanga ne mulekwa, ne nnamwandu abanaabeeranga mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe, n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abali mu bibuga byammwe ne bannamawanga ne bamulekwa ne bannamwandu abali wakati wammwe, mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mu kifo ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Munaasanyukanga nga muli wamu ne batabani bammwe ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi ab'omu bibuga byammwe, n'abagwira, ne bamulekwa ne bannamwandu ababeera mu mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n'omuddu wo n'Omuzaana wo n'Omuleevi ali munda w'enzigi zo ne munnaggwanga ne mulekwa ne namwandu, abali wakati wo, mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye.