Deuteronomy 16:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'olya embaga eno, ojaguzanga n'essanyu, ggwe, omwana wo, mutabani wo, omuddu wo, omuzaana wo, Omuleevi, omugwira, enfuuzi ne nnamwandu abali mu bibuga byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoojaguzanga ng’oli ku Mbaga eyo, ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja, n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi, n’omunnaggwanga, ne mulekwa, ne nnamwandu, abanaabeeranga mu bibuga byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga musanyukira wamu ne batabani bammwe ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe, n'abazaana bammwe, n'Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa ne bannamwandu abali mu bibuga byammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga musanyukira wamu ne batabani bammwe ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi, n'abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu abali mu bibuga byammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era onoosanyukiranga embaga yo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo, n'omuddu wo n'omuzaana wo, n'Omuleevi ne munnaggwanga ne mulekwa ne nnamwandu, abali munda w'enzigi zo.