Deuteronomy 16:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omalanga ennaku musanvu ng'okuliza Omukama Katonda wo embaga eno mu kifo Omukama ky'aliba alonze, kubanga Omukama Katonda wo alikuwa omukisa mu bibala byo byonna ne mu mirimu gyonna egy'emikono gyo; oliba mu ssanyu jjereere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoomalanga ennaku musanvu ng’ojaguza ku Mbaga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky’aneeronderanga. Kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byonna eby’amakungula go, ne mu mirimu gyo gyonna gy’onootuusangako engalo zo, essanyu lyo bwe lityo linaabanga lijjuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okumala ennaku musanvu, muneekuumanga embaga eri Mukama Katonda wammwe mu kifo Mukama ky'alyeroboza, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu bibala byammwe byonna ne mu mirimu gyammwe gyonna, era munaabanga n'essanyu jjereere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munassangamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa nga mukola Embaga eno okumala ennaku musanvu, mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu bye munaakungulanga byonna, ne mu bye munaakolanga byonna, ne mujjula essanyu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku musanvu oneekuumanga embaga eri Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky'alyeroboza: kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byo byonna, ne mu mulimu gwonna ogw'engalo zo, era onoobanga n'essanyu jjereere. Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna banaalabikanga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza: ku mbaga ey'emmere eteri nzimbulukuse, ne ku mbaga eya ssabbiiti, ne ku mbaga ey'ensiisira: so tebalabikanga mu maaso ga Mukama nga tebalina kintu: