Deuteronomy 16:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula buli omu aleetanga ekirabo okugerera ku by'alina, ng'Omukama Katonda wo bw'aliba akuwadde omukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli omu anaaleetanga ekirabo kye ng’obusobozi bwe bwe bunaabanga, nga bwesigamizibwa ku mikisa Mukama Katonda wo gy’anaabanga akuwadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu anaawanga nga bw'anaayinzanga, ng'omukisa bwe gunaabanga Mukama Katonda we gw'amuwadde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu anaawangayo nga bw'asobola, okusinziira ku mukisa Mukama Katonda wammwe gw'anaabanga amuwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
buli muntu anaawanga nga bw'anaayinzanga, ng'omukisa bwe gunaabanga ogwa Mukama Katonda wo gw'akuwadde: