Deuteronomy 16:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu bibuga byo byonna Omukama Katonda wo by'aliba akuwadde, buli kika kyo okironderanga abalamuzi n'abaami; balamulanga abantu mu butuufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoolondanga abalamuzi n’abakulembeze mu bantu, mu bika byo byonna, mu bibuga byo byonna, Mukama Katonda wo by’akuwa, baweerezenga abantu nga babasalirawo ensonga zaabwe nga tebasaliriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Munnassangawo abalamuzi n'abaami mu bibuga Mukama Katonda wammwe by'abawa ng'ebika byammwe bwe biri, era banaasaliranga abantu emisango egy'ensonga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nga mugoberera ebika byammwe, munassangawo abalamuzi n'abakulembeze mu bibuga byammwe byonna Mukama Katonda wammwe by'abawa. Banaasaliranga abantu emisango mu bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalamuzi n'abaami onossangawo mu nzigi zo zonna Mukama Katonda wo z'akuwa, ng'ebika byo bwe biri: era banaasaliranga abantu emisango egy'ensonga.