Deuteronomy 16:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tosalirizanga; teweekubiiranga; tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g'abagezi, era egootaanya ensonga z'abatuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obeeranga n’obwenkanya, era tobanga na kyekubiira ng’osala emisango. Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g’omugezi era ebuzaabuza ebigambo by’abatuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temukyamyanga musango; temusalirizanga bantu; so temulyanga nguzi; kubanga enguzi eziba amaaso g'ab'amagezi, era ekyusakyusa ebigambo by'abatuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebaabenga batali benkanya wadde abeekubiira mu nsala yaabwe, era tebaalyenga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g'omuntu omugezi, era ereetera omutuufu okukyamya ebigambo bye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tokyamyanga musango; tosalirizanga bantu: so tolyanga nguzi; kubanga enguzi eziba amaaso g'ab'amagezi, era ekyusakyusa ebigambo by'abatuukirivu.