Deuteronomy 16:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Otambiranga Pasika y'Omukama Katonda wo ng'oggya mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze ng'ekisulo ky'erinnya lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onooleetanga ekiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, ng’okiggya mu ggana lyo, ne mu kisibo kyo mu kifo Mukama ky’anaabanga yerondedde nga kye ky’okubeerangamu Erinnya lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olw'okuyitako, munattiranga Mukama Katonda wammwe ku mbuzi ne ku nte, mu kifo Mukama ky'alyeroboza okutuuzaamu erinnya lye, onoottiranga Okuyitako Mukama Katonda wo, ku mbuzi ne ku nte, mu kifo Mukama ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugendanga mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, ne muweera eyo Mukama Katonda wammwe ekitambiro eky'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, nga mukiggya mu nte zammwe oba mu ndiga n'embuzi zammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onottiranga Okuyitako Mukama Katonda wo, ku mbuzi n, ku nte, mu kifo Mukama ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye.